Eby’e Ssese, waliwo abawala abakukusibwa e Kalangala
Nga Uganda yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw'okukusa abantu olukuzibwa buli 30 July, waliwo okukusa abawala abaakavubuka okugenda mu maaso mu ggwanga ne batwalibwa mu bitundu eby’enjawulo nga babasuubizza emirimu. Gye biggweera nga abawala bano omulimu gwe bakola gwa kusikiriza bakaasitoma okweyunira ebbaala ate nga ensimbi ezibabeezaawo baziggya mu kwetunda eri bakaasitoma. Tugenda kutuusako abawala ab’enjawulo nga battottola engeri gye baatuukamu mu bizinga by’e Ssese nga babasuubizza emirimu ne bawunzika nga bali ku gwa kwetunda.PATRICK SSENYONDO k’atuwe emboozi y’omuwala asooka.