Eby’ekyapa kya Nakibuuka: Eklezia egamba yakibawa, ab'enganda bakyaganye okuziika
Ekelezia Katulika mu ssaza ekkulu ery’e Kampala ekalambidde nti ekifaananyi ekibadde kisiigibwa nti b’ezza ettaka ly’omukadde kikyamu kuba omukadde yalibawa so si kulibateresa. Bagamba ebyogerwa bya bulimba ebitambuzibwa abanyazi b’ettaka abalina ebigendererwa byabwe. Wabula bo ab’ekika ky’omukadde Nakibuuka bagamba baakukuuma omubiri gw’omugenzi ku nsi nga tegunnaziikibwa okutuusa nga eklezia ebawadde ekyapa nga bwe yalaama obutamuziika nga tekinnavaayo