Eby’okwerinda e Namugongo, abawanvu n’abampi balabiddwako, waliwo abakwatiddwa
Poliisi egamba nti ekkute abantu abasuka mu makumi ana bano nga abasinga bali ku misango gya kyala kimpadde ababadde bagezaako okutwala ebintu by’abantu abaze okulamaga e Namugongo, ku bantu ababiddwako ebyabwe kwekubadde n’abantu abatambudde n’ebyapa by’ettaka nga kino kivuddeko aba poliisi okwetandika okwebuuza ekiviiriddeko abant okutambula n’ebyappa bino.Wetuviiridde e Namugongo nga poliisi ekonkomadde n’abaana amakumi 20 ababuze ku babavunanyizibwako, wabula nga okutwakiza awamu ab’ebyokwerinda bagamba nti embeera ebadde nzikakkamu nga tewali bulabe bwonna.