Ebyali mu ttabamiruka wa DP, Ssebamala ne Mutenyu buli omu anenya munne
Abakulira ekibiina ki Democratic Party bagamba nti newankubadde baayita mu kusomooza mu kulonda abakulembeze baabwe mu tabamiruka eyaakaggwa e Mbarara - ekibiina kikyali kinywevu era nga kyongera kusimba makanda buli lukya.Akulira akakiiko k’e by’okulonda mu kibiina kino Keneddy Mutenyo atubuulidde nti omu kubawandulwa mu lw’okaano lwabegwanyiza obwa pulezidenti Richard Ssebamala , ekyamujjisamu bwali butaba na bisanyizo,sosi nsonga za buntu.Kati bano kyebazaako kutandika kugaba kaadi eri abaagala okuvuganya ku bifo ebyenjawulo ebyobukulembeze mu ggwanga.