EFUJJO LY’AB’EBYOKWERINDA: Ssaabaduumizi; abaaby’enyigiddemu baakukwatibwa
Ministry y'ensonga z'omunda evumiridde obusiwuufu bw'empisa obuzze bwolesebwa akabinja k'abaserikale ba JAT nga bagamba nti tebagenda kukkirizza mbeera ng'eno kugenda mu maaso mu bitongole by'eby’okwerinda. Bino byogeddwa minsita omubeezi ow'ensonga z'omunda David Muhoozi, bw'alabiseeko mu kakiiko k'ebyokwerinda. Ono abadde ne ssabaduumizi wa Poliisi Abas Byakagaba nga bakunyizibwa ku nsonga za kamera ennawunyi ezassibwa ku nguudo ezitali zimu.