Ekibira kya Lazaalo ekyali kisanyewo e Luwero kizziddwawo
Waliwo ekibira e Luwero eyo mu ggombolola ye Nyimbwa ekyali kisaanyiziddwawo olw’abantu okukitemamu emiti kati ekizzeewo olw’akaweefube eyatandikibwa abasaseredooti basatu nga kati n’ebyomunsiko ebyali byetegudde bitandise okukomawoEkibira kino ekyali kiyitibwa Nandere ng’a kati Kyatuumibwa Lazaaro kati kiri ku bugazi bwa yiika 244 okuva ku yiika 95 kwe kyaliEkibira kino kikyusizza n’embeera y’obudde mu kitundu kino ekintu ekitadde akamwenyu ku batuuze b’omukitundu kino