EKIRIME KY’EMMWANYI: Minisita wa Buganda Kakomo asabye ab’e Masaka okwegatta
Abantu ba Buganda bakubiriziddwa okukola n’amaanyi okusobola okwebezaawo awatali kulindira nga buyambi okuva eri abo abali mu buyinza. Okusinzira ku Hamis Kakomo minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku by’obulimi, abantu okukola n’ebafuna ensimbi ezibabezaawo kigya ku bataasa nyo ku bakulembeze ab’enoonyeza ebyaabwe wamu n’okulindirira nga gavumenti y’e Mengo oba ey’owakati okubaduukirira. Bino Minisita Kakomo abyogedde bwabadde yetabye mu mwoleso gw’abalimi b’emwaanyi oguyindidde ku mbuga ya Pokino e Masaka.