Ekiteeso ky’omubaka Lumu aba UPC bakigobye, bamuwadde ensonga zaabwe
Ekibiina ki UPC kisimbidde ekuuli ekiteeso ky'omubaka Richard Lumu ekyokuleeta ennongosereza mu tteeka erifuga Palamenti lisobole okuwa ababaka b'oludda oluvuganya obuyinza okwelonderanga Akulira Oludda oluvuganya.
Mu nsisinkano omubaka Lumu gy'abaddemu n'abakulembeze ba UPC, Pulezidenti w'ekibiina kino, Jimmy Akena amutegeezezza nba bwe batakkiriziganya na kya babaka kulonda akulira oludda oluvuganya kubanga ebibiina ebivuganya byawukana mu ndowooza.
Wabula ono agamba waliwo ebyetaaga ok