Ekiteeso kya Kiryowa Kiwanuka abalwanirizi b’eddembe ne bannamateeka bakiwakanya
Ekiteeso kya Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka, okuleeta ennongoosereza mu tteeka okuggyawo obuyinza bw'omulamuzi okuyimiriza okuwulira omusango oba okwejjeereza 'omuvunaanwa singa aba atulugunyiziddwa, kiwakanyiziddwa abalwanirizi b'eddembe .
Abalwanirizi b'eddembe bagamba nti singa ennongoosereza zino zikolebwa kino kijja kuwa ekyanya abebyokwerinda okwongera okulinnyirira eddembe ly'obuntu.