Ekkanisa mu lutobazzi, abatuuze be Kulambiro beemulugunya
Gyebuvuddeko waliwo abateeka ekitongole ki NEMA ku nninga nga bakiranga okulondobamu nga kirwanyisa abeesenza mu bifo eby'entobazzi. Kati waliwo essinzizo li Purposeful living churchlyetuzudde e Kulambiro nga lizimbibwa mu lutobazzi,ekireetedde abatuuze okwekubira enduulu nga bagamba nti kino kisemberedde okubaleetera amataba mu kitundu. Twogedeko n'ayogerera ekitongole ki NEMA Naomi Karekaho natugamba nti abazimba ekanisa eno babalagira dda okwamuka ekifo kino lwakuba bakyefudde bannampulirazzibi.