Emirambo egyakazuulwa e Bulambuli oluvanyuma lw'okuyigulukuka kw’ettaka giweze 20
Abali ku mulimu gw’okunoonya abantu abaaziikiddwa mu kubumbulukuka kw’ettaka okwabadde mu disitulikiti ye Bulambuli mu kiro ekyakeeseza olunaku lweggulo batubuulidde nti webuwungeredde nga bakazuula emirambo 20 ,songa bantu abasukka mu 90 abakyanonyezebwa.Wetutuukiddeyo nga ogw’okunoonya banaabwe abaabuze abatuuze bakyagukozesa nkumbi na bitiiyo.Kyoka batubuulidde enkuba etonya obutasalako nayo ezingamizza omulimu ggwabwe.