Empaka za Africa Zone 5 Volleyball Championship zituuse ku semis
Empaaka za Africa Zone 5 Volleyball Championship ziyingide olunaku olw'okubiri ku kubisawe bya Lugogo Indoor Arena ne Old Kampala Arena. Mu gimu ku mizannyo egizanyiddwa : mu bakazi tiimu ya Sport S ekubidwa tiimu ya APR abe Rwanda seeti ssaatu ku bwerere, naye basobode okuyitawo okuzanya emizanyo egidirira egyakamalilizo, nga bakuzanya banatamegwa Pipe line abaava e Kenya. Bo aba APR bakuzanya KCB Nkumba , okusalawo anayitawo okuzanya omupiira ogwakamalilizo.