Endya mu baana:Abakugu bagamba bangi bakonzimbye
Ekitongole ekikola ku by'ebibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics kizudde ng'abaana abali wansi w'emyaka etaano abakoNzibye olw'endya embi baweze obukadde bubiri mu ggwanga lyonna. Bagamba nti abaana okukonziba kiviiri ddala ku myaka ebiri , kyoka nga kiva ku kyakuba nga emmere gye balya teriimu biriisa ebiyinza okuzimba emibiri gyabwe. Ekitundu kye Karamoja kinokodwayo ng'ekikyasinze okubaamu abaana abakoseddwa embeera eno.