Enjala e Karamoja: Etandise okuyonka abaayo, waliwo abasengukidde awalala
Enjala ani amuwadde akatebe e Karamoja etandise okuwaliririza abatuuze okusenguka okwolekera ebitundu ebirala okunoonya eky’okuzza eri omumwa.Okusinga, kino kivudde ku muliro oguzze gusanyaawo emmere entono abatuuze gy’ebaali baterese nga kw’ogasse n’embeera y’obudde eteesigika. Omusasi waffe Herbert Kamoga embeera eno agirojja bwati.