Enjega y’e Kiteezi: Abaafiirwa ebyabwe e Kiteezi gav’t tennabaliyirira
Enjega y’e Kiteezi ng’emaze okugwawo, kyakakasibwa nti eno tebadde nteekateeka ya katonda wabula bunafu bwabakwatibwako naddala ekitongole ki KCCA - ekyasigala nga kiyiwa kasasiro mu kifo kino newankubadde kyali kyajjula dda mu mwaka 2015 Mu buufu obwo, kyakanyizibwako nti abaakosebwa,kko nabafiirwa abaabwe baliyirirwe,songa abaali bawangaalira okumpi n’ensozi zino baweebwe ensimbi basenguke. Kyoka kati ng’omwaka gukunukkiriza okuwera omulamba nga bino bibaddewo ,bagamba nti batambudde obwoya kubula kubaggwa ku magulu wabula eby’okubaliyirira gavumenti erabika nga ssibyeriko.