Enkaayana mu butale; abali mu bw’obwa nnanyini e Namuwongo basobeddwa
Wakyaliwo okusoberwa mu bantu abakolera mu butale obumu mu Kampala oluvanyuma lw’ekiragiro kya Pulezidenti Museveni ekyawa KCCA olukusa okwezza obutale mu kampala bwonna. Mukatale k’e Namuwongo 1 bannannyini midaala bakyakalambira nti bbo akatale kaabwe kaabwannanyini, kale nga ekiragiro ky’omukulembeze we ggwanga tekibakwatako. Bernard Kwesiga, y'omu kwabo abaasangibwa nga baazimbamu omudaala ogw’obwannayini kyokka oluvanyuma ng’ekiragiro ky’omukulembeze w’e ggwanga kireeteddwa,abaali bapangisa omudaala gwe balekerawo okumusasula ekintu ekimubobbya omutwe.