Enkuba etasalawo ezze n’omuyaga okusanyizzaawo ebintu
Abatuuze mu gombolola y’e Kihiihi ne Nyanga mu disitulikiti ye bali ku tebuukye, oluvanyuma lw'enkuba omwabadde e mbuyaga n'omuzira okutonya mu kitundu kino neyonoona ebintu by'abatuuze ebiwerako. Ennimiro z’abatuuze eziwerako zayonooneddwa, songa nezimu ku nnyumba zaabwe tezaasigazza busolya. Kati bano baagala abakwatibwako ensonga banguwe okubaduukirira nga enjala ani amuwadda akatebe tenabalumba.