Enteekateeka za PFF: Lukwago asisinkanye Besigye e Luzira, agenze ne Bobi
Loodi mmeeya wa Kampala Erias Lukwago, olwaleero asisinkanye ne Dr Kizza Besigye mu kkomera gyali e Luzira okwogera ku nteekateeka zaabwe ez'ekibiina ekiggya ekya PFF okubala nga beetegekera ttabamiruka waabwe agenda okubeerawo nga 8 omwezi ogujja. Lukwago agamba ebimu ebisimbiddwako essira kwekulaba nga bo n'ebibiina ebirala bakwataganira wamu okulaba nga banunula eggwanga. Mukaseera ke kamu ne pulezidenti we kibiina ki NUP Robert Kyagulanyi ssentamu akyalidde abasibe bannakibiina kyabwe abasoba mwasatu, okulaba nga babagumya, nga bwebalwana obwezingirire okulaba nga babanunula kuba embeera yaabwe gyebalimu tewomya nakabululu