Enzikiriza ya Budha mu Uganda, bakuzizza olunaku lw’okusabira abaana
Olunaku olwaleero ab’enzikiriza ya Budha mu ggwanga bawonze abaana mu mikono gya katonda waabwe, nga guno omukolo gubaawo omulundi gumu buli mwaka. Bano leero bakedde kutambula mu kitundu kyabwe nga basisinkana abagoberezi baabwe mu bitundu bye ntebe. Akulira enzikiriza eno Bhante Budharakkita agambye nti enzikiriza yaabwe buli mwaka egenda eyongera okusimba amakanda nokubuna eggwanga lyonna.