Etteeka ku bannaddiini, okukungaanya ebirowoozo kuwedde
Ekitongole ekikola ku mpisa kko n'obuntu bulamu kitubuulidde nti kyenkana kiwumbyewumbye okukung'anya ebirowoozo ebigenda okwesigamwako okubaga ebiragiro ebiggya ebinaalungamya enzirukanya y'enzikiriza mu ggwanga oba Faith based Organization Policy.Batubuulidde nti kino kigendereddwamu kumalawo bukuubagano obuzze bubaawo , abakulembeze be diini ezimu ne batuuka n'okukozesa olukujjukujju okunyaga abagoberezi baabwe nga beerimbise mu ddembe ly'okusinza.Kyoka newankubadde guli gutyo wakyaliwo abakulira enzikiriza abakyasimbira ekkuli buli kiteesebwako.