Etteeka ku bibiina by’obufuzi liyisiddwa wakati mu kuwakanyizibwa
Ekibiina ky'eby’obufuzi kyonna ekitalina bwa mmemba mu mukago gw'ebibiina ebirina ababaka mu palamenti gu IPOD sikyakufuna ssente okuva mu gavumenti singa ennongoosereza mu bbago ly'etteeka erirungamya ebyobufuzi limala n'erissibwako omukono gw'omukulembeze w'eggwanga Ebbago lino li Political Parties and Organizations Ammendment Bill 2025 , eriruubirira okugonjoola eby’okuvujjirira ebibiina by'obufuzi, olwaleero lwe liyisiddwa Palamenti