Eyakuba abantu amasasi kkooti e Mityana emuguddeko emisango
Isaac Ssendawula avunaanibwa okukuba omuntu amasasi ku kyalo Kabira ekisangibwa mu gombolola ye maanyi mu disitulikiti ye Mityana, olwaleero asimbiddwa mu kootti y'omulamuzi w’eddaala erisooka Obed Mugizi wabula ono takiriziddwa kubaako kyayogera bwatyo omulamuzi namulagira okudda mu kooti nga 29 omwezi guno. Kiggambigwa nti Ssendawula aliko omuserikale wa poliisi gweyasikako emundu mu gombolola y’e Maanyi naakuba omuntu gweyali azze naye eyategererekeka nga Sam Nangereka ekyamuviirako okufa.