Eyatemwako amagulu olwa sukaali: Eby’okwesaasira yabivaako, kati y’azzaamu abalala amaanyi
Olwaleero tukuleetedde emboozi ya Violet Kokunda agumidde embeera y'okusalwako amagulu olw'ekirwadde kya Sukaali kyawangadde nakyo ebbanga erisukka mu myaka 25. Kokunda atunyumiriza engeri gye yava mu byokwekubagiza natandika okukozesa emikisa gyalina mu bulamu bwe okusobola okweyimirizaawo. Nga yeyambisa emikutu gya Social Media ono era kati essira yalitadde ku kugumya n'okuzzaamu abantu abali mu mbeera ngeyiye amaanyi mpozzi n'okubangula abalala ku ngeri gye bayinza okwewala ekirwadde kino.