Eyawamba omwana n’asaba omusingo akwatiddwa
Poliisi mu disitulikiti ye Masaka ekutte omuyizi wa siniya ey’okusatu owemyaka 16 , kko n’omugoba wa bodaboda Ronald yiga nga balangibwa kuwamba mwana ne basaba omusingo. Abakwate babade baagala abazadde b’omwana ono ow’emyaka omukaaga babawe obukadde bw’ensimbi bunna oba sikkyo omwana bamutte. Omuyizi ono abuulidde poliisi nti okuwamba omwana ono yali anoonya bisale bya ssomero.