FDC esimbudde, Nandala y’agenda okubakwatira bendera mu kulonda kwa 2026
Ekibiina ki Forum for Democratic Change kyanjudde Nathan Nandala Mafabi nga agenda okukikwatira benderaku kifo ky'omukulembeze w’eggwanga mu kulonda kwa 2026.Mafaabi okuyitawo kiddiridde gwabadde avuganya naye Patrick Oboi Amuriat okukkiriza okudda ku bbali namulekera ayitewo nga tavuganyiziddwa.Abakulu mu kibiina kino batugambye nti kino bakikoze kwewala kukuubagana okw’omunda mu kibiina nga bwekizze kiba buli lwebaba banaatera okusemberera okulonda.