Kassim Ouma yeewera kufutiza munnakenya
Omukubi w'ebikonde Kassimu Ouma w'akulwana olulwana lwe olusookedde ddala mu Uganda bukyanga agenda mu America mu mwaka gwa 1998. Mu buzito bwa middle weight ono w'akuttunka ne munna Kenya Rayton Okwiri olunaku lwenkya ku Lugogo Cricket Oval. Olw'aleero bano bapimiddwa nga Ouma azitowa kilo 72 n'obutundutundu butaano ate nga ye omunakkenya azitowa kilo 71 n'obutundutundu mwenda.