Kawempe North: Akakiiko k’eby’okulonda kagamba keetegefu
Akakiiko k'eby’okulonda tekannaba nakukitegeerako nti olwaleero wabaddewo akavuyo mu kuyigga akalulu k'okujjuzza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North. Bano batubuulidde nti ennaku ebbiri ezasooka ze zaabeeraliikiriza naye okuwenja akalulu kuweddeko mu mirembe. Balabudde n'abavuganya obutetantala kuddamu kuyigga kalulu mu lwatu kubanga bajja kuba bamenya mateeka.