Kiikino ekibiina ekiyamba okutumbula embeera mu ghetto
Mu bulamu obwa bulijjo, abantu abwangaalira mu bitundu ebiri mu nzigotta oba Gheto batwalibwa ng'abaalemwa era ensi beyakwatako. Kyoka olw'okuba nabo bakimanyi nti ensi yabavaako, baasalawo okwerondamu abakulembeze abatali ba kukubako kalulu, nebeewa obuvunanyizibwa obw'okufuukira ekitundu omumuli. Tutuseeko e Kawempe mu kitunddu ekimanyiddwa Gaza gyetusanze omuvubuka Mustapha Bbosa akulembera banne nga ono yatandikawo n'ekibiina kyeyatuuma Turf Empire.