Liigi y’omuzannyo gw’okubaka eddamu okuzanyibwa
Liigi y’omuzannyo gw’okubaka yakuddamu okutojjera nga April 5 oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga tezanyibwa olw’omuzannyo okugyibwako satifiketi ekintu ekyava ku nkaayana mu by’obufuzi.Kati kkiraabu ez’enjawulo zibakanye n’okwetegekera liigi eno . Norah Lunkuse omu ku bazannyi ba KCCA Netball Club atubuulidde engeri gye beetegeseemu.