Luyimbazi Nalukoola agamba talina mifumbi girwana na baserikale
Oluvanyuma lw’ebyamutuuseeko olunaku lw’eggulo, munnamateeka Elias Luyimbazi Nalukoola n’okutiisa kati akyebuuza ekyatunudde ab’ebyokwerinda okumukwata ng’omuyeekera nebatuuka n’okumuwalula ku luguudo kwossa okumuyuliza engoye zonna ne zisigala bulele.Kyokka Nalukoola agamba guno ssi gwe mulundi ogusoose nga gavumenti eno emukolako effujjo, wabula nga kuluno singa bannamateka be bamukkiriza wakugikuba mu mbuga z’amateeka.