Manya ennyonja ya paadi ezoozebwa | OBULAMU TOOKE
Olw’embeera y’ebyenfuna ennafu, abamu ku bakyala abatasobola kwetusaako Paadi ezaabulijjo, basalawo okukozesa ezitasuulwa oba ezoosebwa zebakola mu ngoye. Wabula kizuuse nti bangi tebafuna kusomesabwa kumala ku nkozesa n’ennyonja ya paadi engiiye ekiyinza okubavirako okulwala endwadde ezitali zimu. Abakugu abenjawulo baliko amagezi ge bawadde.