Mao agamba enkolagana ya DP ne NRM bagiwaddeyo omwezi gumu gwokka
Akulira ekibiina ki Democratic Party DP Norbert Mao atubuulidde nti nga ekibiina bagenda kwewaamu ebbanga lya mwezi gumu okwetegereza endagaano gye baakola ebagatta ne NRM . Bino byebimu ku byaavuddeyo mu tabamiruka w'abakulira ekibiina eyatudde e Soroti , abakulu nebasalawo nti kyandibadde kigwana omukago guno okuguykomya mu bwanguKati Mao agamba nti baatudde nebekeneenya ensonga eno, kyoka obutapapa ne beewa omwezi mulamba nga bakyagirowozaako.