Mercy Batamuriza alina essuubi erizannyirawo ebweru wa Uganda
Omuzannyi w’omuzannyo gw’okubaka Mercy Batamuriza alina essuubi nti waakugenda mu maaso n'okuzannyira kkiraabu z'ebweru w'eggwanga oluvannyuma lw'okuzannyirako kkiraabu ya Perak Phoenix mu ggwanga lya Malaysia. Kkiraabu ya Perak Phoenix gye yazannyidde sizoni eno yamalidde mu kifo kyakuna mu liigi.