Muhammad Kasirye wa mukono gumu naye emirimu agikola
Ku kyalo Bataka mu muluka ggwe Nabbingo e Nsanji, waliwo omusajja Mohammad Kasirye gwetusanze nga omulimu akola ggwa kusima binnya bya kabuyonjo, kyoka nga eky’enjawulo alina omukono gumu.Atubuulidde nti okusima ekinnya ekya fuuti 60 ku bugazi obw’enjawulo kimutwalira ennaku nga nnya zokka.Omulimu guno anyumya nti aguwangaddemu era nga mwajja ensimbi ezirabirira abantu be