Munnamateeka Eron Kiiza ayagala abakulira kooti y’amagye bakwatibwe
Omu ku bannamateeka aworereza Dr Kiiiza Besigye ne Obed Lutare abawozezebwa mu kooti yamaggye Eron kiiza awandiikidde poliisi ebbaluwa ng’ayagala ekwate abakulira kooti y’amaggye ng’abalanga kuwamba bantu mu bumenyi bw’amateeka. Kiiza agamba nti buli kyakolebwa kimenya mateeka aga uganda kko nensi yonna, kale nga talaba nsonga lwaki tebasimbibwa mu kooti ezimanyiddwa amateeka ne babitebya. Kyoka ono agamba nti singa poliisi yetulako, wakubaggulako omusango yye nga omuntu.