Museveni aguddewo ettendekero ly’abaddusi mu butongole
Omukulembeze w’e ggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayagala abadusi bonna mu ggwanga bettanire nnyo okwegatta ku bitongole ebikuuma ddembe ng’amaggye ,Poliisi n’ekitongole ky’amakomera olwo basobole okufuna ku musaala ggwa gavumenti. Pulezident okwogera bino abadde Kapchorwa ng’aggulawo ekisaaye omutendekerwa abadusi b’emisinde ki National High Altitude Training Centre e Teryet. Abaddusi babade basabye omukulembeze w’e ggwanga nti bateekebwe ku musaala ng’abakozi ba gavumenti abalala, kyoka ababuulidde nti bwebaba bakulya ku nsimbi za gavumenti bayingire ebitongole ebikuuma ddembe, olwo badduke nga bwebasasulwa omusaala.