Nabbanja alagidde abali mu matigga e Bulambuli baveeyo
Abantu abawangaalira mu bifo eby’amatigga mu disitulikiti ye Bulambuli balagiddwa okubyamuka nga bukyali okusobola okutaasa obulamu. Ekiragiro kino kiyisiddwa Ssaabaminsita Robinah Nabbanja olwaleero bwatuuseeko mu kifo awaayigulukuse ettaka mu ggombolola ye Buluganya Ono era yeetisse amabugo ga bukadde butaano eri famire z'a buli muntu eyafiiridde mu njega eno mpozzi n'akakadde kamu eri buli yakoseddwa.