Nabbanja atongozza essomero n'eddwaliro ly’e Nakasongola
Ssabaminisita Robinah Nabbanja akalaatidde abantu b’e Nakasongola okutwaala eby’obulamu ng’ensonga enkulu nga bakola ebyo ebibayambako okwetangira endwadde g’amba ng’okusula mu butimba bw’ensiri ssaako okukola duyiro. Nabbanja abadde Lwampanga ng’aggulawo eddwaliro lya Lwampanga Health Centre III n’esomero lya Moone Primary School agazimbiddwa government oluvanyuma lw’amataba okwonoona ebizimbe ebikadde. Bino byazimbiddwa ku mugatte gw’ensimbi Akawumbi kamu n'obukadde lusanvu.