Nazzikuno: Engeri gye bateekateekamu ettooke erinyige
Omunyige kika kya mmere ewoomera abantu bangi nga mu mbeera eno kagube mukolo, abantu bawulira nga teguwedde singa tekuba ttooke. Newankubadde bangi balikuba ennoga n'okusolobeza nebasolobeza, okulitekaateka waliwo kalumanywera, anti ab'omulembe guno bbo bamanyi byakusiba mu buveera ne budeeya. Mu mboozi yaffe eya Nazzikuno olwaleero, ogenda kulaba omunyige guno bwe gutekateekebwa okuva mu nnimiro okutuukiira ddala ku lwaliiro. RONALD SENVUMA k'atandikire awo.