NRM yeeyamye okusasulira obujjanjabi bw'omuntu eyeeyokyerezza ku palamenti
Abakulembeze mu kibiina ki NRM beyamye okuyingira mu nsonga z’omuntu wabwe Benjamin Agaba eyeekumako omuliro ku wankaaki wa palamenti ku Lwokusatu lwa sabiiti eno nga yeemulugunya olw’ekibiina obutamuyamba. Bagamba nti baakukola kyona ekisoboka okulaba ng’ono ajjanjabibwa oluvannyuma bazuule ekituufu ekyaziyisa ono okuyambibwa.