NUP eyanukudde ku nnongoosereza eziri mu tteeka ku bibiina by’obufuzi
Abakulu mu kibiina ki National Unity Platfrom bagamba nti ekibiina tekitambulira ku ssente zoka okusobola okutambuza emirimu mu kibiina. kino kidiridde enttekatteka z’okukola enongosereza mu tteeka eirugamya ebibina byobufuzi mu ggwanga li Political parties and organisation Amendment Bill, 2025 nga ligenderedwamu kubonereza bibiina byobuffuzi ebitakanya na mikago egitabanya omuli IPOD ne National Consultative Forum.
Okusinzira ku nongosereza mu tteka lino ebibiina ebitakanya ne mikago tebigenda kuddamu kufuna ssente nga bwegubadde.