Obulumi bw’okujjanjaba abalina obulwadde bwa kookolo
Kookolo kyekimu ku birwadde ebyegulidde erinnya mu kutta abantu,era nga si kyangu muntu ku mufuna n’asuubira okuwona. Omutawaana gwonna guviira ddala ku nzijanjaba ey’ebeeyi, songa n’abasawo batono ddala mu ggwanga lyonna. Leero katulabe emboozi ya Damalie Nanyonjo nga atunyumiza engeri gyeyalafuubana okutaasa nyinna Janet Ssali eyalwala kookolo, kyoka era namufaako.