Obutasasula mabanja, mutabani w’omugenzi Ben Kiwanuka akaligiddwa
Eyaliko omubaka wa Uganda e Nigeria Maurice Peter Kagimu era nga mutabani w'omugendi Benedicto Kiwanuka asimbiddwa mu kkooti e Masaka n'aggulibwako omusango gwa kulemererwa kusasula bbanja lya kawumbi kalamba n'ezigwamu nga kigambibwa nti zino yazeewola mu biseera by'akalulu bwe yali yeesimbyewo ku kifo ky'omubaka wa Bukomansimbi South.Okusinziira ku Richard Kiwanuka Ssansa eyawola Kagimu ensimbi mu 2016, agamba nti okuva olwo omukulu ono abaddenga amwepena nga ye nsonga lwaki yaddukira mu mbuga z'amateeka yeekubire enduulu.