Ogw’okulonda kw’e Kawempe gubulako lunaku lwa kusala lwokka
Akakiiko k’ebyokulonda kko n’oludda oluwawaabirwa mu musango ogwawaabwa Faridah Nambi ng’awakanya okulondebwa kwa Elias Nalukoola leero lwebawumbyewumbye okwewozaako mu butongole mu maaso g'omulamuzi wa kkooti enkulu. Bannamateeka b’akakiiko k’ebyokulonda basambaze ebyayogeddwa bannamateeka ba Faridah Nambi abaategezeza kkooti olunaku lw’eggulo nga bwekyaali kikakata ku kakiiko okutegeka okudamu okulonda mu bifo 14 omwali emivuyo.Kati olunaku olwenkya kooti esuubirwa okwekeneenya okwewozaako kwenjuyi zonna, noluvanyuma ewe olunaku kwenaasalira omusango guno.