Ogw’okutta Lwomwa; Tabula n’abalala 4 baakwewozaako
Luggya Tabula, agambibwa okuba omutwe omukulu mu kutemulwa kw'omukulu w'ekika ky'endiga, baganda be babiri ne Luggya Noah,basindikiddwa mu kkooti enkulu ewozesa egya nnaggomola, batandike okwewozaako ku ttemu lino.Kyokka omuwandiisi wa Kkooti ya Kisekwa Milly Naluwenda ye omuwaabi wa gavumenti amuggyeko emisango gino oluvannyuma lw'okukizuula nti mu bujulizi bw'alina ye talinaamu kakwate.