Ogwa Nambi Ne Nalukoola:Kkooti ewunzise okuwulira obujulizi
Okuwulira obujulizi bwaleetebwa mu musango gw’ebyokulonda ogwawaabwa munna NRM Faridah Nambi ng’awakanya obuwanguzi bwa munna NUP Erias Luyimbaazi Nalukoola ku kino ky’omubaka wa Kawempe North kukomekkerezeddwa olwaleero. Obujulizi bw’abantu babiri nga babadde bagenda kuweera Nalukoola obujulizi busuuliddwa ettale nga kino kitegeeza nti Nambi abadde n’obujulizi bw’abantu mwenda ate Nalukoola n’aba n’obujulizi bw’abantu babiri bokka.