Okugonjoola ebbeeyi y’ebikajjo; Ssenyonyi asisinkanye ababirima
Akulira oludda oluvuganya gavumenti Joel Ssenyonyi agamba abantu mu bitundu bye Busoga obwavu baakubukonga lusu ssinga ebeeyi y'ebikajjo eterezebwa. Bino Ssenyonyi abyogeredde mu lukiiko lwabaddemu n'abalimi bebikajjo nabalala abali mu mulimu guno ku kyalo Budumbula mu disitulikiti ye Jinja . Abalimi bategezezza ssenyonyi nga abamu ku bakulembeze baabwe bwebatabafuddeko nga ebbeeyi yebikajjo egwa sso nga bamanyi bulungi nti mwebajja ekigulira magala eddiba kale nga nabo babalinze mu kalulu. Ssenyonyi abadde asisinkana bano nga ne minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi, amakolero n’obwegassi David Bahati naye asisinkana balimi be bamu ab’ebikajjo mu wooteri ya Imperial Royale mu Kampala.