OKUJJULA EBITANNAGGYA: E Busia waliwo ffaaza asindikiddwa mu kkomera
Faaza mu kigo kye Dabani mu distulikiti ye Busia asindikiddwa ku alimanda nga kigambibwa nti yajjula ebitanajja.Faaza Peter Owora , alabiseeko mu maaso g'omulamuzi Thomas Okoth nasomerwa emisango ebiri okuli ogw'okujjula ebitayidde saako okugezaako okukusa omuntu.Ono ng’abadde yewala kkamera zaffe omulamuzi asoose ku mubuuza oba ng’alina munnamateeka anamuyamba okwewozaako.Mu kkooti ebadde ekubyeko obugule, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Julius Tumuhairwe lutegeezezza nga okunoonyereza ku nsonga zino bwekukyagenda mu maaso .Ono bwatyo asindikiddwa mu kkomera e masafu nga bwalindirira okusindikibwa mu kkooti enkulu atandike okwewozaako.Peter Owora ono agambibwa okukabassanya omwana ow'emyaka 17 omwezi oguwedde mu kigo kye Dabani. Omwana ono yatuula ebigezo by'ekyomusanvu omwaka oguwedde .Father Peter Owora emisango gino wabula agyegaanye era omulamuzi bwatyo namusindika mu kkomera okutuusa nga 26 omwezi guno.