Okukola enguudo mu ggwanga kwesibye, gavumenti egamba terina nsimbi kuzivujjirira
Minisita w’ebyentambula Gen Edward Katumba Wamala, abuulidde palamenti nti emirimu ku kunguudo 27 gizingamye n’okuyimirira nga obuzibu tewali ssente zirina kukola mirimu gino, ono agamba nti omwaka gw’ebyensimbi guno betaaga trillions ezisuka mu 3 okukola enguudo kyoka nga gavumenti yabawaddeko obuwumbi 682 nga zino kwekuli okukola enguudo, okudaabiriza n’okusasulako amabanja.Katumba agamba nti wewatabaawo kikyuka kungeri gavumenti gyevugiriramu ensonga z’enguudo, kino kituuse okuvaako enguudo nnyingi okufa ssako n’abawoozi ba Uganda okutandika okujekengera.Bino bibadde mu lutuula lwa palamenti olwaleero.