Okukola ku biruma abatuuze; e Namutumba waliwo abeekozeemu omulimu
Mu disitulikiti ye Namutumba mu ggombolola ye Nabweyo eriyo ekyalo ekyekolamu omulimu okwegonjoolera ebizibu ebibaluma nga beeyambisa abakulembeze wabula nga tebalinza buyambi bwa gavumenti. Bano baasooka kukola ku kizibu ky'enjala mu kitundu ekyaleetebwa ebiwuka ebibaliira ebirime ekikosa amakungula gaabwe, mpozzi n'ettaka erikaddiye. Nga bayambibwako omulimisa wa disitulikiti, Mukiseera kino gyebalaga balabayo, kubanga kati basobolera ddala okuweereza kasooli w'okukubamu obuugi bw'abaana babwe ku ssomero, okusigazaako ow'okulya n'okutunda.